4Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi nʼababuuza nti, “Kiki kyemwagala mbakolere?”
5Ne baddamu kabaka nti, “Ku lwʼomusajja eyatuyigganyanga nʼayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri,
6ⓓ tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka nʼayogera nti, “Ndibabawa.”
7Kabaka nʼalekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo.
8ⓔ Naye kabaka nʼaddira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali[23] muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, nʼabawaayo.
9Nʼabawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ezʼamakungula nga batandika amakungula ga sayiri.
10ⓕ Lizupa muwala wa Aya nʼaddira ebibukutu, nʼabyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa eyʼamakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, nʼataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro.
11Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola,
12ⓖ nʼagenda, nʼaggya amagumba ga Sawulo nʼaga mutabani we Yonasaani ku bantu abʼe Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi ekyʼabantu bonna e Besusani.
13Dawudi nʼaggyayo amagumba ga Sawulo nʼaga mutabani we Yonasaani, nʼagakuŋŋaanya nʼamagumba gʼabo abattibwa ne baanikibwa.
14ⓗ Ne baziika amagumba ga Sawulo nʼaga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda nʼaddamu okusaba kwʼensi.
15Ne waba nate olutalo wakati wʼAbafirisuuti nʼAbayisirayiri. Dawudi nʼaserengeta nʼabasajja be okulwana nʼAbafirisuuti, nʼakoowa nnyo.
16Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu ba gasajja agawanvu yalina effumu ngʼobuzito bwʼomutwe gwʼalyo kilo ssatu nʼekitundu ngʼalina nʼekitala ekiggya, nʼayogera nti agenda okutta Dawudi.
17ⓘ Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya nʼadduukirira Dawudi, nʼalumba Omufirisuuti, nʼamutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”
18ⓙ Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala nʼAbafirisuuti e Gobu. Sibbekayi[24] Omukusasi nʼatta Safu omu ku bazzukulu bʼagasajja gali agawanvu.
19ⓚ Ne wabaawo nate olutalo olulala nʼAbafirisuuti e Gobu, Erukanani[25] mutabani wa Yaale-olegimu Omubesirekemu nʼatta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lwʼeffumu olwali ngʼomuti ogulukirwako engoye.
20Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono nʼebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu wʼagasajja gali agawanvu ennyo.
21ⓛ Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi, nʼamutta.
22ⓜ Abo abana baali bazzukulu bʼagasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.