2 Samwiri 22:1-51 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Dawudi nʼayimbira Mukama ebigambo ebyʼoluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gwʼabalabe be ne mu mukono gwa Sawulo.

2 Nʼayogera nti,

2“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;

3 Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka, ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange. Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange; ggwe ondokola eri abantu ababi.

4Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa, nʼandokola eri abalabe bange.

4

5“Amayengo agʼokufa ganzingiza; embuyaga ezʼokusaanawo zansaanikira.

6 Ebisiba ebyʼamagombe byanneetooloola; nʼemitego gyʼokufa ne ginjolekera.

7 Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; nakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ngʼali mu yeekaalu ye; nʼokukaaba kwange kwamutuukako.

7

8 “Ensi nʼekankana nʼejjugumira, emisingi gyʼeggulu ne ginyeenyezebwa, ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.

9 Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, nʼomuliro ne guva mu kamwa ke, nʼamanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.

10 Yayabuluza eggulu nʼakka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi wʼebigere bye.

11 Ne yeebagala kerubi nʼabuuka, nʼaseeyeeyeza ku biwaawaatiro byʼempewo.

12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira, nʼebire ebikutte okuba ekitaba kyʼamazzi.

13Okumasamasa okwali mu maaso ge kwayakisa amanda agʼomuliro.

14 Mukama yabwatuka ngʼasinziira mu ggulu; Ali Waggulu Ennyo nʼayogera mu ddoboozi lye.

15 Yalasa obusaale nʼasaasaanya abalabe nʼokumyansa okwʼeggulu, nʼabawangula.

16 Ebiwonvu ebyʼomu nnyanja ne bibikkulwa nʼemisingi gyʼensi ne gyeruka olwʼokunenya kwa Mukama nʼolwʼokubwatuka kwʼomukka ogwʼomu nnyindo ze.

16

17 “Yasinzira waggulu nʼantwala nʼansika mu mazzi amangi.

18Yamponya abalabe bange abʼamaanyi abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.

19Bannumba mu nnaku yange naye Mukama nʼampanirira.

20 Yandeeta mu kifo ekigazi; yandokola kubanga yansanyukira.

20

21 “Mukama yampa empeera yange ngʼobutuukirivu bwange bwe bwali; nʼansasula ngʼobulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.

22 Ntambulidde mu kkubo lya Mukama, era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.

23 Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange, era ssaava ku biragiro bye.

24 Sizzanga na musango mu maaso ge, era neekuumye eri obutali butuukirivu.

25Mukama kyavudde ansasula ngʼobutuukirivu bwange bwe buli, era ngʼobulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.

25

26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa; nʼeri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;

27 eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu nʼeri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.

28 Olokola abantu abawombeefu, naye amaaso go ganoonya abʼamalala nʼobakkakkanya.

29 Oli ttaala yange, Ayi Mukama era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.

30Ku lulwe mpangula eggye, era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.

31 Ekkubo lya Katonda golokofu, nʼekigambo kye kituukirira; era ngabo eri abo bonna abaddukira gyʼali.

32 Kubanga ani Katonda wabula Mukama, era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?

33 Katonda kye kiddukiro kyange, era alongoosa ekkubo lyange.

34 Ebigere byange abifuula okuba ngʼebyʼennangaazi, era ampanirira mu bifo ebya waggulu.

35Anteekateeka okulwana entalo, era nʼansobozesa okulasa obusaale obwʼebikomo.

36Ompadde engabo eyʼobulokozi bwo, ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule owʼekitiibwa.

37 Ogaziyizza ekkubo mwe mpita, nʼobukongovvule bwange tebukoonagana.

37

38“Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza, so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.

39Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka, era bali wansi wʼebigere byange.

40 Wampa amaanyi okulwana entalo, nʼoteeka abo abanjigganya wansi wange.

41 Waleetera abalabe bange okunziruka, ne nsanyaawo abo abankyawa.

42 Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba nʼomu ababeera, ne bakaabira Mukama, naye nʼatabaanukula.

43 Nabasekulasekula ne bafuuka ngʼenfuufu eyʼoku nsi, ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ngʼebitosi ebyʼomu nguudo.

43

44 “Ondokodde mu nnumbagana ezʼabantu bange, nʼonfuula omukulu wʼamawanga; abantu be saamanya be bampeereza.

45 Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira, bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.

46 Bonna baggwaamu omwoyo, ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.

46

47 “Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe. Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.

48 Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga, era ateeka amawanga wansi wange;

49 anziggya mu balabe bange. Wangulumiza okusinga abalabe bange, nʼondokola okuva mu basajja abakambwe.

50 Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.

51 Kabaka we amuwadde obuwanguzi obwʼamaanyi, era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi nʼezzadde lye emirembe gyonna.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>