2 Samwiri 23:1-39 LGCB2014 - Bible AI

1 Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, ebyʼenkomerero: ebigambo ebyʼomusajja eyagulumizibwa, Aliwaggulu ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:

2 “Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze, ekigambo kye kyali mu kamwa kange.

3 Katonda wa Isirayiri yayogera, olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti, ‘Omuntu bwʼafuga nʼobutuukirivu, nʼafugira mu kutya Katonda,

4 ali ngʼekitangaala ekyʼoku makya, enjuba ngʼevaayo ku ggulu nga tekuli bire, obudde nga butangaala oluvannyuma lwʼenkuba okukya ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’

5Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda? Teyalagaana nange endagaano eyʼenkalakkalira, nʼagiteekateeka era nʼaginyweza mu buli nsonga? Ekimulobera okumpa omukisa, nʼokuddamu buli kye mmusaba, kiki?

6Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali, kizibu okugakwata ne ngalo.

7Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma oba olunyago lwʼeffumu, era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”

8 Gano ge mannya agʼabasajja ba Dawudi abalwanyi abʼamaanyi be yalina: Yosebubasu-sebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu abʼoku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulwana lumu.

9 Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakoki. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma,

10 naye ye nayimirira ku bubwe nʼatta Abafirisuuti, nʼomukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama nʼabawa obuwanguzi obwʼamaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.

11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogwʼebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka,

12Samma yayimirira wakati mu musiri, nʼagulwanirira, era nʼatta Abafirisuuti. Mukama nʼawa Abayisirayiri obuwanguzi obwʼamaanyi.

13 Mu kiseera ekyʼokukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja kyʼAbafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.

14 Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nʼolusiisira lwʼAbafirisuuti nga luli mu Besirekemu.

15Dawudi nʼalumwa ennyonta, nʼayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?”

16Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi eyʼAbafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi.

17 Naye mu kifo ekyʼokuganywa nʼagayiwayo eri Mukama. Nʼayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogwʼabasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bwʼatyo nʼataganywa.

17Ebyo byʼebimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.

18 Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu wʼabasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu nʼabatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu.

19Nʼaba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa eryʼabali abasatu.

20 Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada owʼe Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate nʼaserengeta ne mu bunnya nʼatta empologoma mu kiseera ekyʼobutiti.

21Nʼatta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ngʼOmumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ngʼalina muggo; yamunyagako effumu lye, nʼalimuttisa.

22Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye nʼayatiikirira ngʼabasajja bali abasatu abazira.

23Nʼaweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa eryʼabasatu. Dawudi nʼamufuula omukulu wʼabambowa.

24Mu makumi asatu mwe mwali: Asakeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo owʼe Besirekemu,

25 Samma Omukalodi,

25Erika Omukalodi,

26Kerezi Omupaluti,

26Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

27 Abiyezeeri Omwanasosi,

27Mebunnayi Omukussai,

28Zalumoni Omwakowa,

28Makalayi Omunetofa,

29 Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,

29Ittayi mutabani wa Libayi owʼe Gibea ekyʼe Benyamini,

30 Benaya Omupirasoni,

30Kiddayi owʼoku nzizi ezʼe Geyaasi,

31Abi-aluboni Omwalubasi

31Azumavesi Omubalukumi,

32Eriyaba Omusaaluboni,

32batabani ba Yaseni, Yonasaani,

33 ne Samma Omukalali,

33Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,

34Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,

34Eriyamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,

35 Kezulo Omukalumeeri,

35Paalayi Omwalubi,

36 Igali mutabani wa Nasani owʼe Zoba,

36Bani Omugaadi,

37Zereki Omwamoni,

37Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,

38 Ira Omuyisuli,

38Galebu Omuyisuli,

39ne Uliya Omukiiti.

39Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>