2 Samwiri 24:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Mukama nʼasunguwalira Isirayiri nate, nʼaleetera Dawudi okubabala. Dawudi nʼalagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”

2 Kabaka nʼalagira Yowaabu nʼabaduumizi abʼeggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”

3 Naye Yowaabu nʼaddamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi nʼokusingawo, nga kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”

4Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu nʼabaduumizi bʼeggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.

5 Oluvannyuma olwʼokusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olwʼobukiikaddyo olwʼekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri.

6 Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni.

7Ne bagenda ku kigo ekyʼe Ttuulo ne mu bibuga byonna ebyʼAbakiivi[26] nʼebyʼAbakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.

8Awo oluvannyuma olwʼokuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda nʼennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi.

9Yowaabu nʼawaayo omuwendo gwʼabantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano.

10 Naye Dawudi nʼakeŋŋeentererwa emmeeme olwʼekikolwa ekyo ekyʼokubala abantu. Nʼagamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olwʼekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gwʼazizza, kubanga nkoze ekyʼobusirusiru.”

11 Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti,

12“Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bwʼatyo bwʼayogera Mukama Katonda nti Ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”

13 Gaadi nʼagenda eri Dawudi nʼamugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso gʼabalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze kyʼonoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”

14 Awo Dawudi nʼagamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gyʼabantu.”

15 Awo Mukama Katonda nʼaweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba.

16 Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olwʼekikolwa ekyo, nʼagamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.

17 Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, nʼayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze ebyʼekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze nʼennyumba ya kitange.”

18 Ku lunaku olwo Gaadi nʼagenda eri Dawudi nʼamugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro[27] lya Alawuna Omuyebusi.”

19Awo Dawudi nʼagondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, nʼayambuka ku gguuliro.

20Alawuna nʼalengera kabaka nʼabasajja be nga bajja gyʼali, nʼafuluma nʼavuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.

21 Alawuna nʼabuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi nʼaddamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”

22 Alawuna nʼagamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna kyʼanaasiima akiweeyo. Ente ziizo ezʼekiweebwayo ekyokebwa, nʼebintu ebiwuula nʼebikoligo byʼente byonna mbiwaddeyo okuba enku.

23 Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna nʼayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”

24 Naye kabaka nʼagamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira[28]. Sijja kuwaayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.” Awo Dawudi nʼasasulira egguuliro nʼente, omuwendo ogwʼenkana effeeza, gulaamu lukaaga.

25Dawudi nʼazimbira Mukama ekyoto nʼawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe. Olwo Mukama Katonda nʼayanukula okusaba kwe ku lwʼensi, kawumpuli nʼava ku Isirayiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>