2 Samwiri 3:1-39 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo ne wabangawo entalo wakati wʼennyumba ya Sawulo nʼennyumba ya Dawudi okumala ebbanga ddene. Dawudi nʼakulaakulana, nʼaba wʼamaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongeranga okunafuwa.

2 Dawudi nʼazaalirwa abaana aboobulenzi e Kebbulooni. Omuggulanda yali Amunoni eyazaalibwa Akinoamu Omuyezuleeri,

3owookubiri yali Kireyaabu eyazaalibwa Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri,

3nʼowookusatu yali Abusaalomu eyazaalibwa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka wʼe Gesuli[7];

4 nʼowookuna yali Adoniya eyazaalibwa Kaggisi,

4nʼowokutaano yali Sefatiya eyazaalibwa Abitali;

5nʼowʼomukaaga yali Isuleyamu,

5eyazaalibwa Egula mukyala wa Dawudi.

6Entalo nʼenkaayana nga zikyagenda mu maaso wakati wʼennyumba ya Sawulo nʼennyumba ya Dawudi, Abuneeri nʼanyweza ekifo kye mu nnyumba ya Sawulo.

7Sawulo yalina omuzaana erinnya lye Lizupa muwala wa Aya. Isubosesi nʼabuuza Abuneeri nti, “Lwaki weetaba nʼomuzaana wa kitange?”

8Awo Abuneeri nʼasunguwala nnyo olwʼekigambo Isubosesi kye yamugamba, nʼamuddamu nti, “Nze mutwe gwʼembwa ya Yuda? Mbadde wa kisa eri ennyumba ya kitaawo Sawulo, nʼeri baganda be, ne mikwano gye, ne sibawaayo mu mukono gwa Dawudi. Kaakano onteekako omusango olwʼomukazi oyo.

9 Katonda akole Abuneeri bwʼatyo nʼokukirawo, bwe siituukirize ekyo Mukama kye yalayirira Dawudi,

10okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, nʼokunyweza entebe eyʼobwakabaka eya Dawudi okufuga Isirayiri ne Yuda okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba[8].”

11Isubosesi nʼataŋŋaanga kwanukula Abuneeri kigambo kirala, olwʼokumutya.

12Awo Abuneeri nʼatumira Dawudi ababaka okumugamba nti, “Ensi yʼani? Kola endagaano nange, laba nnaafuula Isirayiri yonna okuba eyiyo.”

13 Dawudi nʼayogera nti, “Kirungi. Nzija okukola endagaano naawe. Naye ekintu kimu kye nkusaba. Tojja mu maaso gange okuggyako ngʼojja ne Mikali muwala wa Sawulo, ngʼojja okundaba.”

14Awo Dawudi nʼatumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ngʼagamba nti, “Mpa mukyala wange Mikali gwe nayogereza nʼebikuta ekikumi ebyʼAbafirisuuti.”

15Amangwago Isubosesi nʼalagira, bamuggye ku bba Palutiyeri mutabani wa Layisi.

16Naye bba we nʼabagoberera, nga bwʼakaaba okutuukira ddala, e Bakulimu. Abuneeri nʼamugamba nti, “Ddayo eka. Nʼaddayo.”

17Abuneeri nʼateesa nʼabakadde ba Isirayiri, nʼabagamba nti, “Mumaze ebbanga nga mwagala okufuula Dawudi kabaka wammwe.

18Kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yasuubiza Dawudi nti, ‘Ndirokola abantu bange Isirayiri okuva mu mukono gwʼAbafirisuuti ne mu mukono gwʼabalabe baabwe bonna, nga nkozesa omuddu wange Dawudi.’ ”

19 Abuneeri nʼagenda nʼeri Ababenyamini nʼayogera nabo, nʼoluvannyuma nʼagenda nʼategeeza Dawudi e Kebbulooni, ebyo byonna Isirayiri nʼennyumba ya Benyamini bye baasalawo okukola.

20Awo Abuneeri nʼagenda nʼabasajja amakumi abiri ewa Dawudi e Kebbulooni, Dawudi nʼabategekera embaga nnene.

21 Abuneeri nʼagamba Dawudi nti, “Ka ŋŋenderewo mukama wange Kabaka, nkuŋŋaanye Isirayiri yenna, bakole endagaano naawe, obafuge ngʼomutima gwo bwe gunaasiima.” Awo Dawudi nʼasindika Abuneeri agende, nʼagenda mirembe.

22Awo abasajja ba Dawudi ne bakomawo ne Yowaabu, nga baleese omunyago munene ddala. Naye we baakomerawo nga Abuneeri takyali ne Dawudi e Kebbulooni, kubanga yali amusiibudde agende mirembe.

23Yowaabu nʼeggye lyonna bwe baatuuka, Yowaabu nʼategeezebwa nga Abuneeri mutabani wa Neeri bwe yazze eri kabaka, naye kabaka nʼamusiibula, nʼagenda mirembe.

24Awo Yowaabu nʼagenda eri kabaka nʼamugamba nti, “Wakoze ki ekyo, okuleka Abuneeri nʼagenda?

25Okimanyi nga Abuneeri mutabani wa Neeri, yazze okukubuzaabuza, nʼokuketta ennyingira yo nʼenfuluma yo, ne byonna byʼokola?”

26Yowaabu nʼava mu maaso ga Dawudi, nʼatuma ababaka okugoberera Abuneeri, era ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira, naye Dawudi nʼatakimanya.

27 Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu nʼamutwala ku bbali wʼomulyango, ne yeefuula ngʼayogera naye mu kyama, nʼamufumita mu lubuto nʼafa. Ekyo Yowaabu yʼakikola okumusasula olwʼomusaayi gwa Asakeri muganda we.

28Oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, nʼayogera nti, “Nze nʼobwakabaka bwange tetulivunaanibwa ennaku zonna mu maaso ga Mukama olwʼomusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri.

29 Omusaayi gwe gubeerenga ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba ya kitaawe, era mu nnyumba ya Yowaabu mulemenga okubulamu omuziku newaakubadde omugenge, newaakubadde omulema newaakubadde alifa nʼekitala, newaakubadde alibulwa emmere.”

30Yowaabu ne Abisaayi muganda we ne batta Abuneeri kubanga yatta muganda waabwe Asakeri mu lutalo e Gibyoni.

31 Awo Dawudi nʼagamba Yowaabu nʼabantu bonna abaali naye nti, “Mwambale ebibukutu, mukungubagire mu maaso ga Abuneeri.” Kabaka Dawudi yennyini nʼatambulira emabega wʼessanduuko omwali omulambo.

32Abuneeri nʼaziikibwa e Kebbulooni, kabaka nʼakaaba nʼeddoboozi ddene awamu nʼabantu bonna ku ntaana ya Abuneeri.

33Kabaka nʼakungubagira Abuneeri, ngʼagamba nti, “Abuneeri teyandifudde ngʼomusirusiru bwʼafa.

34Emikono gyo tegyasibibwa, so nʼebigere byo tebyateekebwa mu masamba. Ngʼomuntu bwʼagwa mu maaso gʼabo abatali batuukirivu, bwe wagwa bwʼotyo.”

34Abantu bonna ne bamukungubagira.

35 Oluvannyuma bonna ne bagezaako okuwaliriza Dawudi alye ku mmere ngʼobudde bukyalaba, naye nʼalayira ngʼagamba nti, “Katonda ankole bwʼatyo nʼokukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kintu kyonna, okutuusa enjuba ngʼemaze okugwa.”

36Awo abantu bonna ne bakitegeera era ne kibasanyusa. Byonna kabaka bye yakolanga ne bisiimibwanga abantu.

37Era ku lunaku olwo abantu bonna ne Isirayiri yenna ne bategeera nga kabaka teyasiima kuttibwa kwa Abuneeri mutabani wa Neeri.

38Awo kabaka nʼagamba abantu be nti, “Temumanyi nga leero mu Isirayiri mufuddemu omukungu era omusajja omuzira?

39 Era leero, newaakubadde nga nze kabaka eyafukibwako amafuta, ndimunafu olwʼabaana ba Zeruyiya abampitiriddeko obukakanyavu. Mukama asasule bwʼatyo omukozi wʼebibi olwʼebikolwa bye!”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>