2 Samwiri 4:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ngʼafiiridde e Kebbulooni, nʼaggwaamu essuubi, ne Isirayiri yenna ne beeraliikirira.

2 Mutabani wa Sawulo oyo yalina abasajja be babiri, bombi nga baduumizi ba bibinja, omu nga ye Baana, nʼowokubiri nga ye Lekabu. Baali batabani ba Limmoni Omubeerosi ngʼava mu kika kya Benyamini, kubanga Beerosi kyabalibwanga okuba ekimu ki bitundu bya Benyamini,

3 engeri abantu abʼe Beerosi bwe baddukira e Gittayimu, ne babeera eyo na guno gujwa.

4 Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egyʼobukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ngʼadduka okumuwonya, omwana nʼagwa nʼalemala. Nʼerinnya lye ye yali Mefibosesi.

5Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne balaga Isubosesi gye yabeeranga, ne batuuka mu ssaawa ezʼetuntu, ne bamusanga ngʼawummuddeko.

6Ne bagenda mu kisenge ekyʼomunda ne baba ngʼabajja okukima eŋŋaano, ne bamufumita mu lubuto, ne badduka.

7Bwe bayingira mu nnyumba, baamusanga agalamidde ku kitanda mu kisenge kye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako nʼomutwe. Ne batwala omutwe gwe, ne batambula ekiro kyonna mu kkubo erya Alaba.

8Omutwe gwa Isubosesi ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyayagala okukutta, guuguno. Leero Mukama awalanye eggwanga lya mukama waffe kabaka ku Sawulo nʼezzadde lye.”

9 Naye Dawudi nʼaddamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna,

10 omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ nʼalowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olwʼamawulire ge yaleeta.

11Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”

12Awo Dawudi nʼalagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo nʼebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi nʼekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>