1 ⓗ Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo.
2 Mu biro ebyʼedda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”
3 Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, nʼakola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri[9] .
4 ⓘ Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; nʼafugira emyaka amakumi ana.
5 Mu Kebbulooni nʼafugirayo Yuda emyaka musanvu nʼekitundu, ate mu Yerusaalemi nʼafugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.
6 ⓙ Kabaka nʼabasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana nʼAbayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe bʼamaaso nʼabalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira.
7 ⓚ Naye Dawudi nʼawamba ekigo kya Sayuuni, kyʼekibuga kya Dawudi.
8 ⓛ Ku lunaku olwo Dawudi nʼalagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe bʼamaaso nʼabalema, emmeeme ya Dawudi bʼekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe bʼamaaso nʼabalema tebaliyingira mu lubiri.”
9 Dawudi nʼabeera mu kigo, nʼakituuma Ekibuga kya Dawudi. Nʼazimba ekibuga okukyetooloola, nʼakiteekako ne bbugwe.
10 Dawudi ne yeeyongeranga okuba owʼamaanyi kubanga Mukama Katonda owʼEggye yali wamu naye.
11 ⓜ Awo kabaka Kiramu owʼe Ttuulo nʼatuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, nʼabazimbi bʼamayinja, nʼababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.
12 ⓝ Dawudi nʼategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ngʼagulumizizza obwakabaka bwe olwʼabantu ba Mukama Isirayiri.
13 ⓞ Dawudi bwe yava e Kebbulooni nʼawasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi nʼaboobuwala ne bamuzaalirwa.
14 ⓟ Amannya gʼabo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,
15 ⓠ ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya,
16 ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti[10] .
17 ⓡ Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi nʼakiwulira nʼaserengeta mu kigo kye.
18 ⓢ Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu.
19 Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama nʼamuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
20 ⓣ Awo Dawudi nʼagenda e Baaluperazimu, era nʼabawangula. Nʼayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ngʼembuyaga ezʼamazzi bwe zita ne zikulukuta nʼamaanyi.” Era ekifo ekyo kye kyava kituumibwa Baaluperazimu.
21 ⓤ Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi nʼabasajja be ne babatwala.
22 ⓥ Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu.
23 Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, nʼamuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ngʼobafuluma mu maaso gʼemitugunda.
24 Awo olunaatuuka bwʼonoowulira abakumba ku masanso gʼemitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye lyʼAbafirisuuti.”
25 ⓦ Awo Dawudi nʼakola nga Mukama bwe yamulagira, nʼazikiriza Abafirisuuti okuva e Gebaⓧ okutuuka e Gezeri.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.