1Dawudi nʼakuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri.
2ⓨ Nʼagolokoka nʼagenda nʼabantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama owʼEggye atuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka wakati wa bakerubi.
3Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera
4ngʼessanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ngʼagikulembeddemu.
5ⓩ Dawudi nʼennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama nʼamaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, nʼentongooli, nʼebitaasa, nʼensaasi, nʼebirala.
6ⓐ Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza nʼagolola omukono gwe nʼakwata ku ssanduuko ya Katonda.
7Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olwʼekikolwa ekyo, Katonda nʼamuttira awo okumpi nʼessanduuko ya Katonda.
8Awo Dawudi nʼanyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, nʼatuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero.
10ⓒ Dawudi nʼatayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era nʼasalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
11ⓓ Essanduuko ya Mukama nʼebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama nʼamuwa omukisa ye nʼennyumba ye yonna.
12Awo Dawudi nʼategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu nʼebintu bye byonna biweereddwa omukisa olwʼessanduuko ya Katonda.” Dawudi nʼagenda nʼaggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu nʼagireeta mu kibuga kya Dawudi ngʼajaguza.
13ⓔ Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga nʼawaayo ente ennume nʼennyana ensava nga ssaddaaka.
14ⓕ Dawudi ngʼayambadde olugoye olwa linena, nʼazinira mu maaso ga Mukama nʼamaanyi ge gonna.
15ⓖ Dawudi nʼennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa nʼamakondeere.
16Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ngʼereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ngʼali mu ddirisa, nʼalengera kabaka Dawudi ngʼabuuka, ngʼazinira mu maaso ga Mukama, nʼamunyooma.
17Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi nʼawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo olwʼemirembe, mu maaso ga Mukama.
20ⓙ Dawudi nʼaddayo ewuwe okusabira abʼomu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo nʼagenda okumusisinkana nʼayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bwʼatyo, ne yeyambulira mu maaso gʼabawala abaweereza nʼabaddu ngʼomuntu atalina nsonyi?”
21ⓚ Awo Dawudi nʼagamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, nʼennyumba ye yonna okuba omukulembeze wʼabantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama.
22Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso gʼabawala abaweereza bʼoyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”