2 Samwiri 7:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo olwatuuka kabaka nʼatereera mu lubiri lwe, Mukama nʼamuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola.

2 Nʼagamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa nʼemivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.”

3 Nasani nʼaddamu kabaka nti, “Genda okole ngʼomutima gwo bwe gukugamba, kubanga Mukama ali wamu naawe.”

4Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

5 “Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba eyʼokubeeramu?

6 Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema.

7 Mu bifo byonna bye ntambudde nʼAbayisirayiri bonna, nnina ekigambo nʼekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba eyʼemivule?” ’ ”

8“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama, owʼEggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze wʼabantu bange Isirayiri.

9Mbadde naawe buli gyʼogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ngʼerimu ku gʼabasajja abʼekitiibwa ennyo mu nsi.

10 Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye,

11 okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera ebyʼemirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.

11Mukama akugamba nti Ndinyweza ennyumba yo.

12 Ennaku zo bwe ziriggwaako, nʼowummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe.

13 Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye eyʼobwakabaka bwe ennaku zonna.

14 Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bwʼanasobyanga nnaamukangavvulanga nʼomuggo ogwʼabantu nʼenga ezʼabantu.

15Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go.

16Ennyumba yo nʼobwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo eyʼobwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”

17Nasani nʼategeeza Dawudi ebigambo byonna ebyʼokubikkulirwa kwe.

18 Awo kabaka Dawudi nʼayingira nʼatuula mu maaso ga Mukama, nʼayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, nʼennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?

19 Gyʼobeera ekyo tekimala, Ayi Mukama Katonda, oyogedde ku bigenda okubaawo mu biro ebyʼomu maaso ku nnyumba eyʼomuddu wo. Bwʼotyo bwʼokolagana nʼomuntu, Ayi Mukama Katonda?”

20 “Kiki ekirala Dawudi kyayinza okukugamba, kubanga ggwe, Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo.

21Olwʼekigambo kyo nʼolwʼokusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, nʼobimanyisa omuddu wo.”

22 “Ngʼoli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde nʼamatu gaffe.

23 Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ngʼabantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, nʼabakolera ebintu ebikulu ebyʼamagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso gʼabantu bo be weenunulira okuva mu Misiri?

24 Onywezezza abantu bo, Isirayiri ngʼababo ddala emirembe gyonna era ggwe Ayi Mukama nʼobeera Katonda waabwe.”

25“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo nʼennyumba ye okole nga bwe wasuubiza,

26erinnya lyo libeerenga kkulu ennaku zonna, kigambibwe nti, ‘Mukama owʼEggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era nʼennyumba ya Dawudi omuddu wo erinywezebwa mu maaso go.”

27“Ayi Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ngʼogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gyʼoli.

28 Ayi Mukama Katonda, oli Katonda, nʼebigambo byo bya mazima, era omuddu wo omusuubizza ebintu ebirungi.

29Kale nno okkirize okuwa ennyumba eyʼomuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba eyʼomuddu wo eneebanga nʼomukisa ennaku zonna.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>