5ⓗ Awo Abasuuli abʼe Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka wʼe Zoba, naye Dawudi nʼatta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo.
6Dawudi nʼassa ebibinja ebyʼabaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama nʼawa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
7ⓘ Dawudi nʼanyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri nʼazireeta e Yerusaalemi.
8ⓙ Kabaka Dawudi nʼanyaga nʼebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.
10nʼatuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, nʼokumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu nʼamutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu nʼebikomo.
11ⓛ Kabaka Dawudi nʼabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula.
12ⓜ Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, nʼAbamoni, nʼAbafirisuuti ne Amaleki; nʼawonga nʼomunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka wʼe Zoba.
13ⓝ Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu ekyʼOmunnyo.
14ⓞ Nʼateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama nʼawa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
15Dawudi nʼafuga Isirayiri yenna, ngʼafuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima.
16ⓟ Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi wʼeggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza,
17Zadooki[12] mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi,
18ⓠ Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu wʼAbakeresi nʼAbaperesi[13] abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi abʼobwakabaka.