2 Samwiri 9:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Dawudi nʼabuuza nti, “Wakyaliwo omuntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okulaga ekisa ku lwa Yonasaani?”

2Awo waaliwo omuddu mu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba. Ne bamutumya, nʼajja mu maaso ga Dawudi. Kabaka nʼamubuuza nti, “Ggwe Ziba?” Nʼaddamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”

3Kabaka nʼamubuuza nti, “Tewaliwo muntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okukolera ebirungi olwʼekisa kya Katonda?” Ziba nʼaddamu kabaka nti, “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani, eyalemala ebigere.” Kabaka nʼamubuuza nti, “Ali ludda wa?” Ziba nʼamuddamu nti,

4“Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.”

5Awo Dawudi nʼamutumya, ne bamuleeta okuva mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.

6Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Sawulo nʼajja eri Dawudi nʼavuunama mu maaso ge. Dawudi nʼamubuuza nti, “Ggwe Mefibosesi?” Nʼaddamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”

7Dawudi nʼamugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.”

8Mefibosesi ne yeeyanza nʼayogera nti, “Omuddu wo kye ki, okufaayo ku mbwa enfu nga nze?”

9Awo kabaka nʼayita Ziba, omuddu wa Sawulo, nʼamugamba nti, “Mpadde muzzukulu wa mukama wo ebintu byonna ebyali ebya Sawulo nʼennyumba ye.

10Ggwe ne batabani bo nʼabaddu bo munaamulimiranga ettaka ne muleeta ebibala ebirivaamu, muzzukulu wa mukama wo abenga nʼekyokulya. Mefibosesi muzzukulu wa mukama wo, ye anaaliiranga ku mmeeza yange nange, ennaku zange zonna.” Ziba yalina abaana aboobulenzi kkumi na bataano nʼabaddu amakumi abiri.

11Awo Ziba nʼagamba kabaka nti, “Nga bwʼolagidde mukama wange kabaka, bwe kijja okukolebwa omuddu wo.” Mefibosesi nʼaliiranga ku mmeeza ya Dawudi ngʼomu ku balangira.

12 Mefibosesi yalina mutabani we omuto, eyayitibwanga Mikka, ne bonna abaali abʼennyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.

13Mefibosesi nʼabeera mu Yerusaalemi kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka. Yali yalemala ebigere.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>