2 Timoseewo 1:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olwʼokwagala kwa Katonda, ngʼokusuubiza bwe kuli okwʼobulamu obuli mu Kristo Yesu,

2nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa nʼokusaasirwa, nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.

3Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana nʼekiro.

4Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu.

5Nzijukira okukkiriza kwo okwʼamazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina.

6Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange.

7Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, nʼokwagala era nʼokwegendereza.

8Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olwʼEnjiri ngʼoyambibwa amaanyi ga Katonda,

9eyatulokola nʼatuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ngʼasinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ngʼebikolwa byaffe bwe biri, naye olwʼekigendererwa kye ye, nʼekisa kye, kye yatukwatirwa ngʼayita mu Kristo Yesu okuva edda nʼedda Lyonna.

10Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kwʼOmulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, nʼaleeta obulamu obutazikirizibwa ngʼayita mu Njiri,

11gye nalonderwa okugisaasaanya, nʼokuba omutume, era omuyigiriza,

12era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti Ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

13Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu.

14Ekintu ekirungi ekyʼomuwendo kye wateresebwa kikuumenga ngʼoyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.

15Kino okimanyi, ngʼabʼomu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.

16Mukama akwatirwe ekisa abʼomu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe;

17bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era nʼanzuula.

18Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gwʼomanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>