2 Timoseewo 2:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu.

2Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso gʼabajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.

3Naawe bonaabonanga ngʼomuserikale omulungi owa Kristo Yesu.

4Tewali muserikale ngʼali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gyʼabantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika.

5Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gyʼempaka, taweebwa buwanguzi bwʼatagoberera biragiro bya mizannyo egyo.

6Omulimi ategana ennyo yʼasaanira okufuna ku bibala ebibereberye.

7Kale lowooza ku bye ŋŋamba; Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.

8Jjukira nga Yesu Kristo owʼomu zzadde lya Dawudi yazuukira mu bafu ngʼEnjiri gye ntegeeza bwʼegamba.

9OlwʼEnjiri eyo, kyenva mbonaabona nʼensibibwa ngʼomukozi wʼebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa.

10Kyenva ngumira ebintu byonna olwʼabalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, nʼekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu.

11Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti:

11“Obanga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye.

12Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

13Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga teyeewakanya.”

14Ebyo bijjukizenga abantu ngʼobakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza.

15Fubanga okweraga ngʼosiimibwa Katonda, ngʼoli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo eryʼobubaka obwʼamazima.

16Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda.

17Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto,

18abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti Okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza.

19 Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”

20Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu nʼebyʼemiti, era nʼebyʼebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egyʼekitiibwa, nʼebirala egitali gya kitiibwa.

21Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga owʼekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olwʼomulimu omulungi.

22Naye ddukanga okwegomba okubi okwʼekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, nʼokukkiriza, nʼokwagalana era nʼemirembe awamu nʼabo abasaba Mukama nʼomutima omulongoofu.

23Weewalenga empaka ezʼobusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana.

24Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, nʼokuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza,

25era aluŋŋamya nʼobwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima,

26ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese byʼayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>