2 Timoseewo 4:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu nʼabafu omusango, era nʼolwʼokujja kwe, nʼolwʼobwakabaka bwe,

2buuliranga ekigambo kya Katonda, ngʼoli mwetegefu mu kiseera ekituufu nʼekitali kituufu, ngʼolaga ebikwekeddwa, ngʼonenya, ngʼozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, nʼokubonaabona okungi, nʼokuyigiriza.

3Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olwʼokugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira.

4Baligaana okuwuliriza ebyʼamazima, ne bagoberera enfumo obufumo.

5Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ngʼokola omulimu ogwʼomubuulizi wʼenjiri, ngʼotuukiririza ddala obuweereza bwo.

6Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange ekyʼokuva ku nsi kituuse.

7Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange.

8Kye nsigazza kwe kufuna engule eyʼobutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gyʼalimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa nʼabo bonna abeegomba okujja kwe.

9Fuba okujja amangu gye ndi.

10Kubanga Dema yandekawo ngʼayagala omulembe gwa kaakano, nʼagenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito nʼagenda e Dalumatiya.

11Lukka yekka yʼali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza.

12Tukiko nʼamutuma mu Efeso.

13Bwʼobanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga nʼemizingo gyʼebitabo, na ddala egyo egyʼamaliba.

14Alegezanda, omuweesi wʼebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olwʼebikolwa bye.

15Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe.

16Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali nʼomu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa.

17Kyokka Mukama waffe yabeera nange, nʼampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bwʼatyo nʼanziggya mu kamwa kʼempologoma.

18Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe nʼemirembe. Amiina.

19Nnamusiza Pulisika ne Akula nʼabʼomu maka ga Onesifolo.

20Erasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde.

21Fuba ojje ngʼebiseera byʼobutiti tebinnaba kutuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, nʼabooluganda bonna.

22Mukama waffe abeerenga nʼomwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>