1Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu nʼabaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula nʼabo bonna abategeera amazima.
2Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.
3Ekisa, nʼokusaasira nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
4Nasanyuka nnyo, bwe nasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe.
5Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ngʼakuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.”
6Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
7Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bwʼatyo mulimba era mulabe wa Kristo.
8Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna.
9Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana.
10Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga.
11Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.
12Newaakubadde nga nnina bingi ebyʼokubawandiikira saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso nʼamaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
13Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.