1Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bwʼoli mu mwoyo.
3Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti Onyweredde mu mazima, era nti mwʼotambulira.
4Tewali kindeetera ssanyu lisinga ngʼeryo lye nfuna bwe mpulira nti Abaana bange batambulira mu mazima.
5Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lwʼokolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bwʼoba tobamanyi.
6Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde.
7Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga.
8Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.
9Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olwʼokwagala okwefuula omukulembeze tatwagala.
10Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu byʼakola, nʼebintu byʼatwogerako ebitali birungi, era nʼolulimi oluvuma lwʼakozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye nʼokulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.
11Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula ebyʼobutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka byʼolaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti Abo abakola ebyʼobutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda.
12Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.
13Mbadde na bingi bye njagala okukugamba, naye saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa,
14kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi ebyʼokwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso nʼamaaso.