Abaebbulaniya 1:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ezʼenjawulo ngʼayita mu bannabbi;

2naye mu nnaku zino ezʼoluvannyuma yayogera naffe ngʼayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi nʼebintu byonna ebirimu.

3Amasamasa nʼekitiibwa kya Katonda, era kyʼekifaananyi kye ddala bwʼali, era abeezaawo buli kintu olwʼekigambo kyʼamaanyi ge. Bwe yamala okukola ekikolwa ekyʼokututukuza okuva mu bibi, nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obwʼomu ggulu.

4Bwʼatyo nʼasinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba eryʼekitiibwa okusinga amannya gaabwe.

5 Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,

5“Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gyʼali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”

6 Era nate bwʼaleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”

7 Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be ngʼempewo, nʼafuula nʼabaweereza be ngʼennimi zʼomuliro.”

8 Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo eyʼObwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe nʼemirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogwʼobwakabaka bwo.

9Wayagala obutuukirivu nʼokyawa obujeemu. Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako amafuta agʼomuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”

10 Ayongera nʼagamba nti, “Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gwʼensi, era nʼeggulu mirimu gwa mukono gwo.

11Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna, era byonna birikaddiwa ngʼekyambalo bwe kikaddiwa.

12Era olibizingako ngʼekooti bwe zingibwako, era birikyusibwa ngʼekyambalo bwe kikyusibwa. Naye ggwe oba bumu, so nʼemyaka gyo tegirikoma.”

13 Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe yʼebigere byo”?

14Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.

>