Abaebbulaniya 10:1-39 LGCB2014 - Bible AI

1Amateeka kisiikirize busiikirize ekyʼebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo.

2Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olwʼebibi byabwe.

3Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe.

4Kubanga omusaayi gwʼente ennume nʼembuzi tegusobola kuggyawo bibi.

5Noolwekyo Kristo bwe yali ngʼajja mu nsi kyeyava agamba nti, “Ssaddaaka nʼebiweebwayo tewabyagala. Naye wanteekerateekera omubiri.

6Ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼekibi, tewabisiima.

7Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gyʼebyawandiikibwa: Nzize okukola byʼoyagala, ngʼEbyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”

8Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka nʼebiweebwayo, nʼebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, nʼebiweebwayo olwʼebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ngʼamateeka bwe galagira,

9nʼalyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola byʼoyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri.

10Twatukuzibwa olwʼokwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.

11Buli kabona ayimirira buli lunaku ngʼaweereza, nʼawaayo ssaddaaka mu ngeri yʼemu, ezitayinza kuggyawo bibi,

12naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka eyʼemirembe gyonna, olwʼebibi, nʼalyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

13Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe yʼebigere bye.

14Kubanga olwʼekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obwʼemirembe gyonna.

15Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bwʼayogera nti,

16 “Eno yʼendagaano gye ndikola nabo, oluvannyuma lwʼennaku ezo, bwʼayogera Mukama. Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe, era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”

17Ayongerako kino nti, “Sirijjukira nate bibi byabwe newaakubadde obujeemu bwabwe.”

18Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olwʼebibi.

19Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu olwʼomusaayi gwa Yesu,

20eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe,

21kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga yʼafuga ennyumba ya Katonda,

22tusembere awali Katonda nʼomwoyo ogwʼamazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga nʼemibiri gyaffe ginaazibbwa nʼamazzi amatukuvu.

23Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa,

24era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi.

25Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ngʼabamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lwʼokudda kwa Mukama waffe lusembedde.

26Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi.

27Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.

28Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza.

29Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era nʼomusaayi gwʼendagaano ogunaazaako ebibi nʼaguyisa ngʼogwa bulijjo, era nʼanyoomoola Omwoyo owʼekisa, talibonerezebwa nʼobukambwe obusingawo?

30Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama yʼaliramula abantu be.”

31Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

32Mujjukire ennaku ezʼedda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okwʼamaanyi.

33Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu nʼabo abaabonaabona nga mmwe.

34Mwalumirwa wamu nʼabasibe, era mwagumiikiriza nʼessanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti Mulina ebisinga obulungi era ebyʼolubeerera ebibalindiridde.

35Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene.

36Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda byʼayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

37Wasigadde akaseera katono nnyo, oyo owʼokujja ajje era talirwa.

38Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza, kyokka bwʼadda emabega simusanyukira.

39Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.

e>