Abaebbulaniya 11:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika.

2Okukkiriza kwe kwaleetera abantu abʼedda abakulu okusiimibwa Katonda.

3Olwʼokukkiriza tumanyi ngʼensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika.

4Olwʼokukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ngʼamuweerwa obujulirwa olwʼebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.

5 Olwʼokukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, nʼatalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa.

6Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era nʼabo abamunoonya nʼobwesigwa abawa empeera.

7Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, nʼatya, era mu kukkiriza nʼazimba eryato olwʼokulokola ennyumba ye. Bwʼatyo nʼasalira ensi omusango, ate nʼafuuka omusika wʼobutuukirivu obuli mu kukkiriza.

8Olwʼokukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, nʼagonda, nʼalaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ngʼomugabo, bwʼatyo nʼagenda nga ne gyʼalaga tamanyiiyo.

9Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olwʼokukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ngʼabasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu.

10Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era nʼazimba.

11Olwʼokukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egyʼokuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa.

12Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ngʼemmunyeenye ezʼoku ggulu, era ngʼomusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.

13Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti Bibalindiridde, kubanga baategeera nti Ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze.

14Aboogera bwe batyo balaga nti Bayolekedde obutaka bwabwe obwʼomu nsi endala.

15Abantu abo singa baalowooza ku birungi ebyʼensi eno bandisobodde okudda emabega.

16Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye yʼomu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bwʼatyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.

17Olwʼokukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, nʼawaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa,

18 gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mwʼolifunira abazzukulu,”

19gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era nʼayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ngʼazuukidde mu bafu.

20Olwʼokukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.

21 Olwʼokukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, nʼakutama ku muggo gwe nʼasinza Katonda.

22Yusufu bwe yali anaatera okufa, olwʼokukkiriza yayogera ku kuva kwʼabaana ba Isirayiri mu Misiri, era nʼabalagira nʼokutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.

23Olwʼokukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.

24Olwʼokukkiriza Musa ngʼakuze, yagaana okuyitibwa omwana wʼomumbejja wa Falaawo

25nʼalondawo okubonaabonera awamu nʼabantu ba Katonda nʼagaana okuba mu ssanyu eryʼekibi eriggwaawo amangu.

26Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bwʼe Misiri, kubanga yali asuubira empeera.

27Olwʼokukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ngʼalaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso agʼomubiri.

28Olwʼokukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, nʼamansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.

29Olwʼokukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ngʼabayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.

30Olwʼokukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.

31Olwʼokukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa nʼabajeemu, kubanga yasembeza abakessi, nʼemirembe.

32Njogere ki nate? Nʼekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala,

33abaawangula bakabaka olwʼokukkiriza, be baakola ebyʼobutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bwʼempologoma,

34be baazikiza omuliro ogwʼamaanyi, be baawona obwogi bwʼekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira abʼamaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye gʼamawanga.

35Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde.

36Nʼabalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, nʼabalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera.

37Baakubibwa amayinja, baasalibwamu nʼemisumeeno, ne battibwa nʼekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba gʼendiga nʼagʼembuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi,

38nʼensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama zʼenjazi.

39Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa.

40Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.

e>