1Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene ekyʼabajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu nʼekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga nʼokugumiikiriza embiro ezʼempaka ezatutegekerwa,
2nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era yʼakutuukiriza, olwʼessanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ngʼanyooma ensonyi, nʼatuula ku luuyi olwa ddyo olwʼentebe ya Katonda.
3Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okwʼabakozi bʼebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.
4Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi!
5Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ngʼabaana be? Agamba nti,
6
7Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ngʼabaana be. Mwana ki kitaawe gwʼatakangavvula?
8Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.
9Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe abʼomubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe wʼemyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu?
10Bakitaffe abʼomubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.
11Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala ebyʼemirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.
12Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye nʼamaviivi gammwe agajugumira,
13era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
14Mufubenga okuba nʼemirembe nʼabantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.
15Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo nʼomu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo eyʼobukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala.
16Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olwʼolulya olumu.
17Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya nʼamaziga mangi.
18Temuzze ku lusozi olulabika olwaka omuliro, nʼokukankana nʼekizikiza ekikutte, ne kibuyaga,
19nʼeri eddoboozi lyʼakagombe nʼeri eddoboozi eryʼebigambo nʼabo abaaliwulira ne batayinza na kweyongera kuligumira.
20Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti,
21Ne Musa nʼatya nnyo olwʼekyo kye yalaba nʼayogera nti,
22Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi ekyʼomu ggulu nʼeri enkumi nʼenkumi ezʼabamalayika abakuŋŋaanye,
23nʼeri ekkanisa eyʼabo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, nʼeri Katonda Omulamuzi wa bonna, nʼeri emyoyo egyʼabantu abaatukirizibwa,
24nʼeri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, eyʼomusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi.
25Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ngʼali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo nʼokusingawo, bwe tulijeemera ekigambo kyʼoyo owʼomu ggulu atulabula?
26Yakankanya ensi nʼeddoboozi lye kyokka nʼasuubiza nti,
27Kino kitegeeza nti Agenda kumalawo nate ebyo ebinyenyezebwa, kyokka ebitanyenyezebwa bisigalewo.
28Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bwʼasiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya.
29Kubanga ddala,