Abaebbulaniya 13:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Mweyongere okwagalananga ngʼabooluganda.

2Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde.

3Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu nʼabo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.

4Obufumbo mubussangamu ekitiibwa nʼebirayiro byabwo, kubanga abakaba nʼabenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

5Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,

5 “Sirikuleka era sirikwabulira nʼakatono.”

6Kyetuva twogera nʼobuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, siityenga, omuntu ayinza ku nkola ki?”

7Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza.

8Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bwʼali era bwʼaliba emirembe nʼemirembe.

9Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okwʼengeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya.

10Tulina ekyoto, abaweereza mu weema eyʼokusisinkanirangamu kye batalina buyinza kuliirangako.

11Kabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gwʼebisolo, olwʼebibi, mu kifo ekitukuvu era nʼennyama yaabyo nʼeyokerwa ebweru wʼolusiisira.

12Noolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era nʼafiira ebweru wʼekibuga alyoke atutukuze nʼomusaayi gwe ye.

13Kale naffe tufulume tulage gyʼali ebweru wʼolusiisira nga twetisse ekivume kye.

14Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.

15Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka eyʼokutendereza Katonda, kye kirabo ekyʼemimwa, nga twatula erinnya lye.

16Temwerabiranga kukola bulungi nʼokugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ngʼezo Katonda zimusanyusa.

17Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole nʼessanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.

18Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu.

19Era okusinga ennyo mbeegayirira munsabire ndyoke nkomewo mangu gye muli.

20Kale, Katonda owʼemirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba wʼendiga omukulu owʼendagaano etaggwaawo gye yanyweza nʼomusaayi gwe,

21abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola byʼayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ngʼayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.

22Kaakano mbakuutira abooluganda, mugumiikirizenga ebibabuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.

23Mbategeeza nti Muganda waffe Timoseewo yateebwa, bwʼalijja amangu, ndijja naye eyo okubalaba.

24Mulamuse abakulembeze bammwe era nʼabakkiriza bonna. Abʼomu Italiya babalamusizza.

25Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

e>