1Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako.
2Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era nʼajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira,
3ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.
4Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu byʼekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.
5Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika.
6
7
8
9Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olwʼekisa kya Katonda, yabonaabona nʼafa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, nʼatikkirwa engule eyʼekitiibwa nʼettendo.
10Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ngʼomukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi.
11Oyo atukuza era nʼabo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be.
12
13
14Olwʼokubanga abaana balina omubiri nʼomusaayi, naye yalina omubiri nʼomusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi agʼokufa, ye Setaani.
15Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olwʼentiisa yʼokufa.
16Kubanga ekyʼamazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu.
17Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi byʼabantu.
18Yabonaabona, ye yennyini ngʼakemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.