1Kale abooluganda abatukuvu, Katonda bʼayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula.
2Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
3Kubanga ngʼomuzimbi bwʼaweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gyʼazimbye, bwʼatyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa.
4Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye yʼazimba buli kintu.
5Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera ebyʼobunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro ebyʼomu maaso.
6Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba yʼoyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
7
8
9
10
11
12Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogwʼobutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.
13Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ngʼekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo nʼomu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bwʼekibi.
14Olwʼokubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero.
15
16Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?
17Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu?
18Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda?
19Era tulaba nga baalemwa okuyingira olwʼobutakkiriza bwabwe.