1Noolwekyo ngʼekisuubizo ekyʼokuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu.
2Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa.
3
4
5Ayongera nʼagamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”
6Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ngʼabo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olwʼobujeemu.
7
8Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo ekyʼokuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olwʼokuwummula.”
9Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka.
10Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ngʼamaze emirimu gye.
11Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi ekyʼabajeemu.
12Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala ekyʼobwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme nʼomwoyo, nʼennyingo nʼobusomyo, era kyawula ebirowoozo nʼokufumiitiriza kwʼomutima.
13Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
14Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula.
15Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka nʼatakola kibi kyonna.
16Kale tusembererenga entebe ya Katonda eyʼobwakabaka eyʼekisa nʼobuvumu, tufune okusaasirwa nʼekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.