Abaebbulaniya 5:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu nʼateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo nʼessaddaaka olwʼebibi byabwe.

2Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era nʼabo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu.

3Olwʼobunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lwʼabantu.

4Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ngʼayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni.

5 Ne Kristo bwʼatyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,

5“Ggwe oli Mwana wange, leero nkuzadde ggwe.”

6 Era nʼawalala agamba nti, “Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe nʼemirembe, ngʼolubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

7Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogwʼobuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bwʼakaaba amaziga mu ddoboozi eryʼomwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda nʼawulira okusaba kwe.

8Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.

9Era bwe yamala okutuukirizibwa, nʼafuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda.

10Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ngʼolubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

11Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu.

12Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo ebyʼamazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo eyʼabakulu.

13Kubanga omuntu bwʼaba ngʼakyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku byʼobutuukirivu.

14Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi nʼekibi.

>