Abaebbulaniya 6:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu byʼomwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ngʼokwenenya ebikolwa ebireeta okufa, byʼebikolwa ebyʼobulombolombo, naye tuteekwa nʼokuba nʼokukkiriza mu Katonda.

2Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obwʼokubatizibwa, nʼobwʼokussibwako emikono, nʼenjigiriza eyʼokuzuukira kwʼabafu, nʼokusalirwa omusango ogwʼolubeerera.

3Katonda nga bwʼasiima, tukule mu mwoyo.

4Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi ebyʼomu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,

5ne bamanya obulungi bwʼekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi agʼemirembe egigenda okujja,

6naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

7Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa.

8Naye bwe libaza amatovu, nʼamaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi nʼokukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.

9Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo eryʼobulokozi.

10Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, nʼokwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza.

11Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira.

12Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ngʼabo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.

13 Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gwʼayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka.

14 Yalayira ngʼagamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era nʼokukwaza nnaakwazanga.”

15Bwʼatyo Ibulayimu bwe yalindirira nʼobugumiikiriza, nʼaweebwa ekyasuubizibwa.

16Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo.

17Ne Katonda bwʼatyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ngʼayagala okukakasiza ddala abasika bʼekisuubizo nti Talijjulula ekyo kye yasuubiza.

18Katonda yakikola bwʼatyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu nʼekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gyʼali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza.

19Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ngʼennanga bwʼenyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda wʼeggigi.

20Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu owʼemirembe gyonna, ngʼolubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

>