Abaebbulaniya 7:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1 Merukizeddeeki yali kabaka wʼe Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ngʼava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki nʼamusisinkana, nʼamusabira omukisa.

2 Ne Ibulayimu nʼawa Merukizeddeeki ekitundu ekyʼekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka owʼObutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka wʼe Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka owʼemirembe.

3Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era nʼobulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ngʼOmwana wa Katonda.

4Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu ekyʼekkumi ekya byonna bye yanyaga.

5Nʼabo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu ekyʼekkumi ngʼetteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe.

6Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu ekyʼekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki nʼasabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa.

7Tewali kubuusabuusa omukulu yʼasabira omuto omukisa.

8Mu ngeri emu, ekimu ekyʼekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu.

9Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu ekyʼekkumi, naye yawaayo ekimu ekyʼekkumi.

10Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.

11Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obwʼEkileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo kyʼokuva mu lubu lwa Alooni?

12Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa nʼokukyusa mu mateeka.

13Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto.

14Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa kyʼataayogerako bigambo bya bwakabona.

15Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki,

16atassibwawo ngʼamateeka agʼebiragiro ebyʼomubiri bwe gali, wabula ngʼamaanyi bwe gali agʼobulamu obutaggwaawo.

17Kubanga Kristo ayogerwako nti,

17 “Oli kabona okutuusa emirembe gyonna ngʼolubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

18Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olwʼobunafu nʼolwʼobutagasa bwakyo,

19kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.

20Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro,

21naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ngʼayita mu oyo amwogerako nti,

21 “Mukama yalayira era tagenda kwejjusa: ‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”

22Yesu kyeyava afuuka omuyima wʼendagaano esinga obulungi.

23Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa.

24Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka.

25Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.

26Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bwʼatyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu,

27ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olwʼebibi bye ye, nʼoluvannyuma olwʼebyo ebyʼabantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.

28Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu nʼobunafu bwabwe, naye ekigambo ekyʼekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.

>