1Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogwʼentebe ya Katonda eyʼobwakabaka mu ggulu,
2omuweereza wʼebitukuvu, era owʼeweema eyʼokusisinkanirangamu eyʼamazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
8“Laba ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama,“ndiragaana endagaano empya nʼennyumba ya Isirayiri,awamu nʼennyumba ya Yuda.
9Endagaano eno empya terifaanana nʼeri gye nalagaana ne bajjajjaabwelwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi yʼe Misiri.Olwʼokubanga tebaagoberera ndagaano yange,nange ssaabassaako mwoyo,”
9bwʼayogera Mukama.
10“Eno yʼendagaano gye ndiragaana nʼennyumba ya Isirayiri,oluvannyuma lwʼennaku ezo, bwʼayogera Mukama.Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabweera ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,nange nnaabeeranga Katonda waabwe,nabo banaabeeranga bantu bange.
11Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ngʼagamba nti,‘Manya Mukama,’Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulubonna balimmanya.