1Endagaano eyʼolubereberye, yalina amateeka agaalagirwa agʼokusinzanga Katonda, era waaliwo nʼeweema entukuvu eyʼoku nsi.
2Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu ekyʼettaala, nʼemmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu.
3Era waaliwo olutimbe olwokubiri ngʼemabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu wʼAwatukuvu.
4Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo kyʼobubaane ekya zaabu, nʼessanduuko eyʼendagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, nʼomuggo gwa Alooni nga gutojjedde, nʼebipande ebyʼamayinja ebyʼAmateeka Ekkumi ebyʼendagaano.
5Ku kisaanikira kyʼessanduuko nga kuliko bakerubbi abʼekitiibwa nga basiikirizza entebe eyʼokusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.
6Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egyʼokuweereza.
7Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge ekyʼomunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo nʼomusaayi, gwe yawangayo ku lulwe nʼolwʼebibi byʼabantu bye baakolanga mu butanwa.
8Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ngʼeweema eyʼokusisinkanirangamu eyʼolubereberye ekyaliwo, nʼenkola eyʼedda ngʼekyaliwo.
9Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gwʼoyo asinza.
10Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obwʼokunaaba, nʼebiragiro abantu bye baalina okukwata nʼokugondera okutuusa ku biro ebyʼokuzza ebintu obuggya.
11Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu owʼebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu nʼokutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno.
12Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogwʼente ennume, naye yayingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu omulundi gumu gwokka nʼomusaayi gwe; bwʼatyo ye yennyini nʼatufunira obulokozi obutaggwaawo.
13Obanga omusaayi gwʼembuzi, nʼente ennume, nʼevvu lyʼente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri;
14omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olwʼOmwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?
15Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olwʼokununulibwa okuva mu byonoono ebyʼomu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa abʼobusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.
16Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ngʼeyakikola amaze kufa.
17Kubanga kikola ngʼeyakikola afudde, kubanga tekiba na makulu eyakikola bwʼaba ngʼakyali mulamu.
18Era nʼendagaano eyʼolubereberye teyakolebwa awatali musaayi.
19Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, nʼatwala omusaayi gwa zisseddume nʼogwʼembuzi, nʼamazzi, nʼaddira obutabi obwʼakawoowo obwa ezobu, nʼebyoya byʼendiga ebiriko omusaayi, nʼamansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu.
20
21Era bwʼatyo nʼamansira ne ku weema eyʼokusisinkanirangamu, ne ku byonna ebyakozesebwanga mu kusinza.
22Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.
23Ebifaananyi byʼebintu ebyʼomu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu ebyʼomu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo.
24Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu wʼAwatukuvu ekyakolebwa nʼemikono gyʼabantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gyʼali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe.
25Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bwʼayingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu buli mwaka nʼomusaayi ogutali gugwe,
26kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kwʼensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero yʼomulembe, ne yeewaayo yennyini ngʼekiweebwayo.
27Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,
28era ne Kristo bwʼatyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi byʼabantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.