Abaefeso 1:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olwʼokwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.

2Ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

3Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogwʼomwoyo oguva mu ggulu.

4Yatulonda okubeera mu Kristo ngʼensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kyʼakunenyezebwa mu maaso ge, olwʼokwagala kwe.

5Olwʼokwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ngʼokusiima kwe bwe kuli.

6Katonda tumutendereze olwʼekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gwʼayagala ennyo.

7Mu oyo mwe tununulibwa olwʼomusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ngʼobugagga bwʼekisa kye bwe buli,

8kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna.

9Yatubikkulira ekyama ekyʼokwagala kwe, ngʼokusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo.

10Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, nʼateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu nʼebiri ku nsi.

11Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ngʼenteekateeka bwʼeri eyʼoyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi agʼokwagala kwe;

12ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba nʼessuubi mu Kristo.

13Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo ekyʼEnjiri eyʼokulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa,

14gwe musingo gwʼobusika bwaffe, okutuusa bwʼalinunula abantu be, ne Katonda nʼagulumizibwa era nʼatenderezebwa.

15Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, nʼokwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna,

16sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira

17ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe owʼekitiibwa, abawe Omwoyo owʼamagezi nʼokubikkulirwa mweyongere okumutegeera.

18Nnyongera okubasabira, amaaso gʼemitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi lyʼokuyitibwa kwammwe, nʼobugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu nʼabantu ba Katonda bonna.

19Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ngʼokukola kwʼobuyinza bwʼamaanyi ge bwe kuli,

20amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, nʼamutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu.

21Waggulu eyo, Kristo gyʼafugira obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna, nʼamaanyi gonna, nʼobwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja.

22Katonda atadde ebintu byonna wansi wʼebigere bye, nʼafuula Kristo omutwe gwʼebintu byonna ebyʼekkanisa,

23era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>