1Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe.
2Ebyo bye mwatambulirangamu ngʼemirembe egyʼensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogwʼomukulu wʼobuyinza obwʼomu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna.
3Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kwʼemibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri nʼebirowoozo. Era okufaanana ngʼabantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ngʼabalala bonna.
4Kyokka olwʼokwagala kwe okungi, nʼekisa kye ekingi,
5ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
6Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo ebyʼomu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu.
7Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu.
8Mwalokolebwa lwa kisa olwʼokukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda.
9Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
10Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.
11Noolwekyo mujjukire, ngʼedda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo zʼabantu,
12nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ngʼAbaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda eyʼekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga nʼessuubi temulina.
13Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olwʼomusaayi gwa Kristo.
14Kristo gyʼemirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ngʼamenyeewo ekisenge ekya wakati ekyʼobulabe, ekyatwawulanga.
15Yadibya nʼetteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ngʼaleeta emirembe,
16alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olwʼomusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo.
17Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, nʼabo abaali okumpi naye.
18Ku bwʼoyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.
19Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu nʼabatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.
20Mwazimbibwa ku musingi ogwʼabatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu lyʼejjinja ekkulu eryʼoku nsonda.
21Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe.
22Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo kyʼazimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.