1Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.
2Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba.
3Nga bwe nasooka okubawandiikira mu bimpimpi, Katonda alina okubikkulirwa okwʼekyama kwe yandaga.
4Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo.
5Mu biro ebyʼedda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bwʼakibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi.
6Kino kye kyama kye njogerako: olwʼenjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.
7Nafuuka omuweereza wʼenjiri eyo olwʼekirabo ekyʼekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ngʼakolera mu maanyi ge.
8Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika.
9Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda.
10Katonda yakigenderera atyo, ngʼayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi nʼobuyinza ebiri mu nsi eyʼomwoyo eya waggulu, ngʼabalaga nga bwʼalina amagezi amangi agʼebika ebyʼenjawulo.
11Katonda yakola bwʼatyo ngʼenteekateeka ye eyʼemirembe nʼemirembe bwʼeri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola.
12Kristo atuwa obuvumu nʼobugumu, tulyoke tusembere mu maaso ga Katonda olwʼokukkiriza nga tetutya.
13Kyenva mbeegayirira muleme kuterebuka olwʼokubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga ekyo kibaleetera kitiibwa.
14Nfukaamirira Kitaffe,
15ebika byonna ebyʼomu ggulu nʼebyʼoku nsi mwe biggya obulamu.
16Nsaba Katonda oyo akola ebyʼekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe owʼomunda, olwʼOmwoyo we,
17Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olwʼokukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga nʼemirandira mu kwagala nga mukunywereddemu,
18mulyoke mubeerenga nʼamaanyi awamu nʼabatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, nʼobuwanvu, nʼobugulumivu nʼokukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo.
19Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bwʼali.
20Kaakano nsaba nti Oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ngʼamaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,
21agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe nʼemirembe. Amiina.