Abaefeso 4:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Ngʼomusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere nʼempisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu.

2Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala.

3Munyiikirenga okukuuma obumu obwʼOmwoyo mu kwegatta awamu okwʼemirembe.

4Omubiri nga bwe guli ogumu, nʼOmwoyo omu, nʼessuubi liri limu eryʼokuyitibwa kwammwe.

5Mukama waffe ali omu, nʼokukkiriza kumu nʼokubatizibwa kumu.

6Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.

7Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ngʼokugera kwa Kristo bwe kuli.

8 Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,

8“Bwe yalinnya mu ggulu, nʼatwala omunyago, nʼawa abantu ebirabo.”

9Okugamba nti Yalinnya, kitegeeza ki? Kitegeeza nti Yasooka kukka mu bitundu ebya wansi wʼensi.

10Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, nʼayisa waggulu wʼeggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bwʼensi yonna.

11Era yʼomu oyo eyawa abamu okuba abatume, nʼabalala okuba bannabbi, nʼabalala okuba ababuulizi bʼenjiri, nʼabalala okuba abasumba, nʼabalala okuba abayigiriza.

12Ekyo yakikola olwʼokutendeka abantu ba Katonda olwʼomulimu ogwʼobuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo.

13Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera nʼokukkiriza kumu, nʼokumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera ekyʼokubeera nga Kristo bwʼali.

14Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ngʼabaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogwʼokuyigiriza okwʼabantu abakuusa, mu nkwe olwʼokugoberera enteekateeka eyʼobulimba.

15Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gwʼEkkanisa.

16Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ngʼekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.

17Ngʼomugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ngʼabatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe ebyʼobusirusiru.

18Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu byʼobulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu.

19Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.

20Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo.

21Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ngʼamazima bwe gali mu Yesu,

22kale mwambulemu obulamu obwʼomuntu owʼedda, avunda olwʼokwegomba okwʼobulimba.

23Mufuuke baggya olwʼOmwoyo afuga ebirowoozo byammwe,

24era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okwʼamazima.

25Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.

26 “Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde.

27Temuwanga Setaani bbanga.

28Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola ebyʼomugaso ngʼakola nʼemikono gye, alyoke afune kyʼagabirako nʼabo abeetaaga.

29Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira.

30Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa.

31Okunyiiga, nʼobusungu, nʼobukambwe, nʼokukaayana, nʼokuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe.

32Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>