1Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa.
2Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe nʼafuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
3Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, nʼobugwagwa bwonna, nʼomululu bireme okuwulirwa mu mmwe.
4Mwewale okwogera ebyʼensonyi, nʼebyʼobusirusiru, nʼokubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda.
5Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
6Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.
7Noolwekyo temwegattanga nʼabafaanana ngʼabo.
8Edda mwali ngʼabantu abʼekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ngʼabaana abʼomusana,
9ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala ebyʼomusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era abʼamazima,
10nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe.
11Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola.
12Kubanga kya nsonyi nʼokubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama.
13Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri.
14Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,
15Mutunule nga mutambula nʼobwegendereza, si ngʼabatalina magezi wabula ngʼabalina amagezi,
16nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.
17Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe kyʼayagala.
18Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe.
19Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ezʼOmwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe.
20Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
21Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
22Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe.
23Omusajja gwe mutwe gwʼomukazi, nga Kristo bwʼali omutwe gwʼEkkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo.
24Kale ngʼEkkanisa bwʼewulira Kristo, nʼabakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga babbaabwe mu byonna.
25Nammwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo.
26Yaginaaza nʼamazzi, nʼagitukuza nʼekigambo kye,
27alyoke yeefunire Ekkanisa eyʼekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.
28Nʼabasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka.
29Tewali nʼomu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bwʼajjanjaba Ekkanisa ye,
30kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31
32Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti Kyogera ku Kristo nʼEkkanisa ye.
33Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era nʼomukazi assengamu bba ekitiibwa.