1Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu.
2
3
4Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.
5Abaddu, muwulirenga bakama bammwe abʼomu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ngʼomutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo.
6Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ngʼabaddu ba Kristo nga mukola nʼomutima gwammwe gwonna, nga Katonda bwʼayagala.
7Muweerezenga nʼomutima omulungi ngʼabakolera Mukama waffe so si ngʼabakolera abantu,
8nga mumanyi ngʼekirungi kyonna omuntu kyʼakola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi.
9Era nammwe bakama bʼabaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.
10Ekyʼenkomerero, mubenga nʼamaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obwʼamaanyi ge.
11Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani.
12Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, nʼabʼobuyinza, nʼamaanyi agʼensi agʼekizikiza, nʼemyoyo emibi egyʼomu bifo ebya waggulu.
13Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olwʼakabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.
14Muyimirire nga muli banywevu, ngʼamazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ngʼobutuukirivu kye kyʼomu kifuba,
15nga mwambadde nʼengatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri eyʼemirembe.
16Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obwʼomuliro obulasibwa omubi.
17Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, nʼekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala ekyʼOmwoyo,
18nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
19Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe ebyʼokwogera, era mbyogerenga nʼobuvumu nga ntegeeza abantu ekyama kyʼEnjiri.
20Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu nʼobuvumu nga bwe kinsaanira.
21Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola.
22Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.
23Emirembe nʼokwagala awamu nʼokukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nʼabooluganda.
24Ekisa kya Katonda kibeerenga nʼabo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo nʼokwagala okutaggwaawo.