1Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okwʼokwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okwʼengeri yonna, oba okusaasira,
2mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, nʼomwoyo gumu, nga mulowooza bumu,
3nga temukola kintu na kimu olwʼokuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka,
4nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ngʼafaayo ne ku byʼabalala.
5Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,
6
7
8
9
10
11
12Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo nʼokusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti Mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana.
13Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa nʼabasobozesa okukola byʼayagala, olwʼokumusanyusa.
14Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka,
15mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako ekyʼamaanyi mu nsi,
16nga munyweza ekigambo kyʼobulamu gye bali, ndyoke mbeere nʼekyʼokwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.
17Naye singa ddala nfukibwa ngʼekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okwʼobwakabona okwʼokukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna.
18Era nammwe musanyukire wamu nange.
19Mukama waffe Yesu bwʼalisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako.
20Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange,
21kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo.
22Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bwʼasaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ngʼomwana bwʼakolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gwʼokubuulira Enjiri.
23Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera.
24Naye nkakasa nti Mukama waffe bwʼalisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.
25Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza owʼebyʼobwakabona owʼebyʼetaago byange,
26ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olwʼobutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala.
27Ddala yalwala era yali kumpi nʼokufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku nʼeteenneeyongera.
28Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina.
29Kale mumwanirize nnyo nʼessanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ngʼoyo mubassangamu ekitiibwa,
30kubanga yabulako katono okufa ngʼali ku mulimu gwa Kristo, ngʼakola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.