Abafiripi 3:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza.

2Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga abʼempisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri.

3Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ngʼOmwoyo bwʼatuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

4Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bwʼalowooza okuba nʼobwesige mu mubiri, nze musinga.

5Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olwʼomunaana. Ndi Muyisirayiri, owʼomu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo,

6eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.

7Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu.

8Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ngʼokufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ngʼebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo,

9ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza.

10Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi gʼokuzuukira kwe,

11nga nsuubira nga nange ndizuukira.

12Sigamba nti Mmaze okufuna oba nti Mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune.

13Abooluganda, mmanyi nti Sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso.

14Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera eyʼokuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.

15Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira.

16Naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.

17Kale, abooluganda, mwegatte nʼabo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga.

18Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba nʼamaziga, nti Waliwo abalabe bʼomusaalaba gwa Kristo,

19era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi.

20Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva.

21Kale bwʼalijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ngʼogugwe ogwʼekitiibwa, ngʼakozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>