1Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu,
2awamu nʼabooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ezʼe Ggalatiya,
3nga tugamba nti ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe nʼeri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe;
4Kristo oyo eyeewaayo ku lwʼebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ngʼokwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli,
5aweebwe ekitiibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.
6Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olwʼekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala.
7Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola nʼokukyusa Enjiri ya Kristo.
8Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bwʼabuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga.
9Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bwʼababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.
10Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo.
11Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu,
12era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira.
13Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini yʼEkiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza,
14era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ezʼedda ezʼamateeka gʼeddiini yange.
15Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, nʼampita olwʼekisa kye,
16nʼambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu nʼomu,
17newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
18Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano.
19Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.
20Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.
21Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu ebyʼe Siriya nʼebyʼe Kirukiya.
22Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana.
23Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.”
24Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.