1Bwe waayitawo emyaka kkumi nʼena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi.
2Nagendayo olwʼokubikulirwa kwe nafuna, ne mbanjulira Enjiri gye mbuulira Abaamawanga. Nayogera nʼabakulembeze bʼEkkanisa mu kyama balyoke bategeere bye njigiriza, si kulwa nga nteganira bwereere, ne bakkiriza nti bituufu.
3Tito gwe nnali naye ne batamuwaliriza kukomolebwa, newaakubadde nga yali munnaggwanga.
4Naye olwʼabooluganda abʼobulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu,
5abo tetwabawuliriza essaawa nʼemu, amazima gʼenjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.
6Naye abo abaabalibwa ngʼokuba ekintu ekyʼomuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako,
7naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri eyʼabatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa eyʼabakomole,
8oyo eyakolera mu Peetero olwʼobutume bwʼabakomole, ye yakolera ne mu nze ku lwʼAbaamawanga.
9Yakobo ne Keefa
10Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ngʼekyo kye nnali nesunga okukola.
11Naye Peetero bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu.
12Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga nʼAbamawanga, naye bwe bajja nʼatandika okubeeyawulako ngʼatya abakomole.
13Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.
14Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ngʼamazima gʼenjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa zʼAbamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa zʼEkiyudaaya?”
15Ffe mu buzaaliranwa tuli Bayudaaya so si Bamawanga aboonoonyi.
16Kyokka tukimanyi bulungi nti Omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olwʼokumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali nʼomu aliweebwa obutuukirivu olwʼebikolwa ebyʼamateeka.
17Naye oba nga bwe twanoonya okuweebwa obutuukirivu mu Kristo twasangibwa okuba aboonoonyi, kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Kikafuuwe.
18Kubanga bwe nzimba nate bye nazikiriza, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi.
19Kubanga olwʼamateeka nnafa eri mateeka, ndyoke mbeere omulamu mu Katonda. Nakomererwa wamu ne Kristo;
20kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.
21Ssidibya kisa kya Katonda; naye oba nga obutuukirivu buva mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.