Abaggalatiya 3:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo eyakomererwa ku musaalaba ne mukitegeera?

2Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa ebyʼamateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?

3Muyinza mutya obutaba na magezi kutuuka awo, abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri?

4Okubonaabona kwonna kwe mwabonaabona kwali kwa bwereere? Bwe kuba nga ddala kwa bwereere.

5Abawa Omwoyo nʼabawa nʼokukola ebyʼamaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa byʼamateeka oba lwa kuwulira olwʼokukkiriza?

6 Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

7Kale mumanye nti abo abakkiriza be baana ba Ibulayimu.

8 Olwʼokuba nga baategeera ebiribaawo nʼekyawandiikibwa, ngʼolwʼokukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.”

9Noolwekyo abo abakkiriza bagabanira wamu omukisa ne Ibulayimu eyakkiriza.

10Naye abo abafugibwa ebikolwa ebyʼamateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya mateeka, akolimiddwa.”

11Kimanyiddwa bulungi nti Tewali nʼomu Katonda gwʼawa butuukirivu olwʼokukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza,

12naye amateeka tegeesigama ku kukkiriza, naye anaagagobereranga anaabeeranga mulamu mu go.

13Kristo yatununula okuva mu kikolimo kyʼamateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”

14Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa ekyʼOmwoyo olwʼokukkiriza.

15Abooluganda njogera mu buntu; endagaano bwʼeba ngʼekakasibbwa, tewabaawo agiggyawo newaakubadde agyongerako.

16Katonda yasuubiza Ibulayimu nʼOmwana we, naye tekigamba nti nʼabaana be ngʼabangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo.

17Kye ŋŋamba kye kino: endagaano eyakakasibwa Katonda nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu nʼefuuka etteeka, teyadibya ekyo ekyasuubizibwa.

18Kuba oba ngʼobusika bwesigamye ku mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo; naye yabuwa Ibulayimu olwʼokusuubiza.

19Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olwʼaboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olwʼomukono gwʼomutabaganya.

20Naye omutabaganya si wʼomu, naye Katonda ali omu.

21Amateeka galwanagana nʼebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu.

22Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti Ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olwʼokukkiriza mu Yesu Kristo.

23Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olwʼokukkiriza okugenda okubikkulwa;

24ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olwʼokumukkiriza.

25Naye okukkiriza bwe kwajja, ngʼolwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.

26Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olwʼokukkiriza Yesu Kristo,

27kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo.

28Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu.

29Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ngʼekisuubizo kyʼabasika bwe kiri.