Abaggalatiya 4:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Naye ŋŋamba nti Omusika bwʼaba ngʼakyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna.

2Afugibwa abasigire nʼabawanika okutuusa lwʼakula nʼatuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka.

3Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obwʼensi.

4Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda nʼatuma Omwana we

5eyazaalibwa omukazi ngʼafugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana.

6Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo wʼOmwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti Aba, Kitaffe.

7Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bwʼoli omwana oli musika ku bwa Katonda.

8Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda.

9Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo?

10Mukwata ennaku, nʼemyezi, nʼebiro, nʼemyaka;

11neeraliikirira si kulwa ngʼomulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.

12Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola;

13era mumanyi nga mu bunafu obwʼomubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri.

14Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olwʼobulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo.

15Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa.

16Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olwʼokubategeeza amazima?

17Abo abalabika ngʼabaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe.

18Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka.

19Baana bange be nnumirwa nate ngʼalumwa okuzaala, okutuusa Kristo lwʼalibumbibwa mu mmwe,

20nandyagadde okubeera nammwe kaakano, nʼokukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.

21Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka?

22Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, nʼomulala nʼamuzaala mu mukazi owʼeddembe.

23Omwana owʼomukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana owʼomukazi owʼeddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana abʼobuddu, ye yava mu Agali.

25Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu.

26Naye Yerusaalemi ekyʼomu ggulu ye mukazi owʼeddembe, era ye nnyaffe.

27Kubanga kyawandiikibwa nti,

27“Sanyuka ggwe omugumba atazaala. Leekaanira waggulu mu ddoboozi eryʼomwanguka newaakubadde nga tozaalanga ku mwana. Kubanga ndikuwa abaana bangi, abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja bʼalina.”

28Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali.

29Naye mu biro biri ngʼeyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri.

30 Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu nʼomwana we, kubanga omwana wʼomukazi omuddu talisikira wamu nʼomwana wʼomukazi owʼeddembe.”

31Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana abʼomukazi owʼeddembe.