Abaggalatiya 5:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Kale nga Kristo bwe yatufuula abʼeddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo kyʼobuddu.

2Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko kyʼabagasa.

3Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna.

4Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olwʼamateeka. Mwava mu kisa.

5Kubanga ffe, ffe ku bwʼOmwoyo olwʼokukkiriza tulindirira nʼessuubi obutuukirivu.

6Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olwʼokwagala.

7Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda nʼabaggya ku kugondera amazima?

8Okusendebwasendebwa okwo, si kwʼoyo eyabayita.

9Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.

10Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bwʼaliba ani.

11Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge eyʼomusaalaba evuddewo.

12Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.

13Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olwʼokwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.

14Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”

15Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza.

16Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri.

17Kubanga okwegomba kwʼomubiri kulwanagana nʼOmwoyo, nʼOmwoyo nʼalwanagana nʼomubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.

18Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

19Ebikolwa byʼomubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu,

20Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu,

21ettima, obutamiivu, ebinyumu, nʼebirala ebiri ngʼebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti Buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

22Naye ebibala ebyʼOmwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa,

23Obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

24Nʼabo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri nʼokwegomba kwagwo, nʼomululu gwagwo.

25Kale bwe tuba abalamu ku bwʼOmwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kwʼOmwoyo.

26Tulemenga okwemanya, nʼokunyizaganya, nʼokukwatiragananga obuggya.