1Abooluganda omuntu bwʼabanga alina ekibi kyʼakoze, mmwe abʼomwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
2Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
3Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bwʼali, yeerimbarimba.
4Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala.
5Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe.
6Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu nʼamuyigiriza ku birungi byonna byʼalina.
7Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula.
8Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.
9Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.
10Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala abʼomu nnyumba eyʼokukkiriza.
11Mulabe, bwe nnabawandiikira nʼomukono gwange mu nnukuta ennene!
12Abo abanoonya okweraga mu mubiri be babawaliriza okukomolebwa mu mubiri, balemenga okuyigganyizibwanga olwʼomusaalaba gwa Kristo, balyoke beenyumirize olwʼomubiri gwammwe.
13Kubanga nʼabo bennyini abakomolebwa tebakwata mateeka, naye baagala mukomolebwe balyoke beenyumirize olwʼomubiri gwammwe.
14Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olwʼomusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, nʼensi ekomereddwa eri nze.
15Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya.
16Nʼabo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, nʼokusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.
17Okuva kaakano tewabanga muntu nʼomu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.
18Abooluganda, ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe nʼomwoyo gwammwe. Amiina.