Abakkolosaayi 1:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olwʼokwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda,

2tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo abʼe Kkolosaayi, nti ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

3Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.

4Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, nʼokwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu,

5olwʼessuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo ekyʼamazima, ye Enjiri.

6Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ngʼebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe.

7Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo,

8ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

9Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda byʼayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okwʼomwoyo.

10Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda.

11Amaanyi agʼekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke,

12nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu abʼobwakabaka obwʼekitangaala.

13Katonda eyatuwonya nʼatuggya mu maanyi gʼekizikiza aga Setaani, nʼatutwala mu bwakabaka bwʼOmwana we omwagalwa,

14atusonyiwa ebibi byaffe, nʼatufuula ba ddembe.

15Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo.

16Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika nʼebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba abʼobuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe.

17Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.

18Ye gwe mutwe gwʼomubiri, nʼomubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna.

19Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye,

20era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gyʼali. Yaleetawo emirembe olwʼomusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye ebyʼensi nʼebyʼomu ggulu.

21Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe nʼebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ngʼabakyawa Katonda.

22Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olwʼokufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.

23Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi eryʼEnjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

24Kaakano nsanyuka olwʼokubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lwʼomubiri gwe, ye Kkanisa.

25Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza wʼEkkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu.

26Ekyama ekyakwekebwa okuva edda nʼedda lyonna, nʼemirembe nʼemirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be.

27Katonda bwʼatyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obwʼekitiibwa kyʼekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era lyʼessuubi eryʼekitiibwa.

28Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ngʼatuukiridde mu Kristo.

29Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bwʼampa obwʼamaanyi.

>