1Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe nʼabʼomu Lawodikiya, era nʼabo abatandabangako mu mubiri.
2Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo.
3Mu Kristo mwe mukwekeddwa ebyʼobugagga byonna ebyʼamagezi nʼokumanya.
4Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo nʼomu ababuzaabuza.
5Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti nʼokukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
6Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye,
7nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
8Mwekuumenga walemenga kubaawo nʼomu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu byʼobulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obwʼabantu nʼebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.
9Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okwʼObwakabaka mwe kulabikira mu mubiri,
10era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gwʼobufuzi bwonna nʼobuyinza bwonna.
11Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kwʼomubiri, naye si okukomolebwa okwʼengalo zʼabantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo.
12Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olwʼokukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.
13Mwali mufudde olwʼebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obwʼokwegomba kwʼomubiri. Katonda nʼabafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna.
14Bwe yasazaamu era nʼaggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, nʼabikomerera ku musaalaba,
15nʼaggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi nʼabʼobuyinza abʼomu bbanga, nʼabaswaza mu lwatu, nʼabawangulira ddala.
16Noolwekyo waleme kubaawo muntu nʼomu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olwʼembaga zʼEkiyudaaya oba ezʼomwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti.
17Kubanga ebyo kisiikirize ekyʼebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo.
18Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼabanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okwʼobulimba nʼokuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ngʼanywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obwʼamagezi agʼomubiri gwe.
19Abʼengeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gwʼomubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga yʼagukuza.
20Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi agʼebintu ebyangu ebyʼensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ngʼabʼomu nsi?
21Bino bye bimu ku biragiro abʼomu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti Tokomba ku kino.
22Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso.
23Birabika ngʼebyʼamagezi mu ngeri eyʼokusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa nʼakatono mu kufuga okwegomba kwʼomubiri.