1Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gyʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
2Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,
3kubanga mwafa era nʼobulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda.
4Kristo atuwa obulamu, bwʼalirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
5Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe ebyʼomubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, nʼobutali bulongoofu, nʼobukaba, nʼokwegomba okwʼensonyi, nʼokuyaayaana; kye kimu nʼokusinza bakatonda abalala.
6Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana abʼobujeemu abakola ebintu ebyo,
7ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga.
8Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, nʼekiruyi, nʼettima, nʼokuvvoola, nʼokunyumya emboozi eyʼensonyi.
9Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu owʼedda nʼebikolwa bye,
10ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi kyʼoyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera.
11Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa nʼataakomolebwa, Omunnaggwanga, nʼOmusukusi, omuddu nʼowʼeddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
12Ngʼabalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, nʼekisa, nʼobuwombeefu, nʼobuteefu, nʼobugumiikiriza.
13Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga.
14Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15Nʼemirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
16Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye ebyʼomwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.
17Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
18Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
19Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
20Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo kyʼekisanyusa Katonda.
21Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe abʼomu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga nʼomutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe.
23Buli kyemukolanga mukikole ngʼabakolera Mukama waffe so si abantu,
24nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe eyʼomugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;
25kubanga ayonoona, alisasulwa olwʼebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.