Abakkolosaayi 4:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Mmwe bakama bʼabaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.

2Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga

3nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, nʼokutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa.

4Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako.

5Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo nʼamagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina.

6Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ngʼenoga omunnyo, mulyoke mumanye ekyʼokwanukulanga buli muntu yenna.

7Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna.

8Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu nʼamaanyi,

9awamu ne Oneessimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku bʼewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.

10Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti Bwʼaliba ngʼaze gye muli mumusembezanga, babatumidde;

11ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi.

12Epafula owʼewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda byʼayagala, abalamusizza.

13Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bwʼafuba ennyo ku lwammwe, nʼabʼomu Lawodikiya, nʼabʼomu Kiyerapoli.

14Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza.

15Mulamuse abooluganda abʼomu Lawodikiya, ne Nunfa, nʼekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.

16Ebbaluwa eno bwʼemalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa nʼabʼekkanisa yʼomu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.

17Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”

18Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.

>