1Nze Pawulo, omuddu
2gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu,
3ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri,
4eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olwʼokuzuukira kwʼabafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe.
5Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lwʼerinnya lye.
6Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo.
7Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu.
8Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olwʼokukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna.
9Katonda gwe mpeereza nʼomutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri eyʼOmwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo,
10nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bwʼanaayagala.
11Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo ekyʼomwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero,
12kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olwʼokukkiriza kwe tulina.
13Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.
14Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani nʼabatali Bayonaani, nʼeri abʼamagezi nʼeri abasirusiru,
15era nammwe abʼe Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri.
16Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya nʼeri Omunnamawanga.
17
18Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna nʼabakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo.
19Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu.
20Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.
21Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza.
22Beeyita abʼamagezi ne bafuuka abasirusiru,
23ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi kyʼomuntu aggwaawo, nʼekyʼebinyonyi, nʼekyʼebirina amagulu ana nʼekyʼebyewalula.
24Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira ebyʼobugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka.
25Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo kyʼokusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.
26Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okwʼobuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe eyʼobuzaaliranwa nʼabasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa.
27Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri eyʼobuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. Nʼekyava mu bikolwa ebyo ebyʼobugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.
28Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera nʼomutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana.
29Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, nʼebibi, nʼomululu, nʼobukyayi, nʼobuggya, nʼobussi, nʼentalo, nʼobulimba, nʼenkwe, nʼokwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo,
30era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala nʼokwekulumbaza, nga bagunjawo enkola yʼebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe.
31Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira.
32Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti Abantu abakola ebintu ngʼebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima nʼabo ababikola.