Abaruumi 11:1-36 LGCB2014 - Bible AI

1Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, owʼomu kika kya Benyamini.

2Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri?

3 Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya nʼebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.”

4 Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.”

5Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olwʼekisa.

6Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.

7Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima,

8 nga bwe kyawandiikibwa nti,

8“Katonda yabawa omwoyo ogwʼokubongoota, nʼaleetera amaaso gaabwe obutalaba, nʼamatu gaabwe obutawulira okutuusa leero.”

9Ne Dawudi yagamba nti, “Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba, ekyʼokubatega era empeera ebasaanira.

10 Amaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba. Era batambule nga bakootakoota emirembe nʼemirembe.”

11Kale ka mbuuze, kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kikafuuwe. Naye olwʼokwonoona kwabwe, obulokozi kyebwava bujja eri Abaamawanga, Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya.

12Kale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, nʼokulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!

13Kaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange,

14singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa.

15Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu?

16Kale kaakano obanga ekitole kyʼeŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ngʼekibala ekibereberye kitukuvu, nʼeŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, nʼamatabi matukuvu.

17Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogwʼomu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, nʼogabana ku bugimu bwʼekikolo kyʼomuzeyituuni,

18teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde.

19Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.”

20Kyʼoyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga.

21Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.

22Kale mufumiitirize ku kisa nʼobukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye nʼaba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bwʼotonywere oliwogolwako.

23Era nʼabo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli.

24Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo abʼobuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?

25Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba abʼamagezi, ngʼabamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira.

26Nʼoluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ngʼEkyawandiikibwa bwe kigamba nti,

26“Omulokozi aliva mu Sayuuni, era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.

27 Era eyo ye ndagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”

28Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe.

29Kubanga Katonda bwʼagabira abantu ebirabo oba bwʼabayita, teyejjusa.

30Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olwʼobujeemu bwʼAbayudaaya,

31bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe.

32Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

33Kale nga Katonda wa kitalo, ngʼamagezi ge mangi nʼokutegeera kwe kungi era nʼobugagga bungi; ensala ye eyʼemisango nga tekeberekeka, nʼamakubo ge tegekkaanyizika.

34 “Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama? Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”

35 “Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, alyoke amuddizeewo?”

36Kubanga byonna biva gyʼali, era biyita mu ye era bidda gyʼali. Ekitiibwa kibe gyʼali emirembe gyonna. Amiina.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>