1Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olwʼokusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okwʼomwoyo.
2So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olwʼokudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okwʼamazima.
3Kubanga njogera olwʼekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo kyʼasaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera kyʼokukkiriza.
4Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo.
5Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
6Tulina ebirabo, ngʼekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri eyʼenjawulo, oba bunnabbi, ngʼekigera kyʼokukkiriza bwe kiri,
7oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza;
8oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga nʼobunyiikivu, nʼomulala okulaga ekisa nga musanyufu.
9Mube nʼokwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,
10nga mwagalana mu kwagala okwʼabooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,
11mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,
12nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.
13Mufengayo ku byetaago byʼabantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga.
15Musanyukirenga wamu nʼabo abasanyuka, era mukaabirenga wamu nʼabo abakaaba.
16Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17Temusasulanga kibi olwʼekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna.
18Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana nʼabantu bonna;
19
20
21Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ngʼokola obulungi.